Judges 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezzadde eryo lyonna nga limaze okugattibwa ku bajjajja baalyo, ne wasitukawo ezzadde eritaamanya ku Mukama ne bye yali akoledde Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ab’omulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gw’abataamanya Mukama yadde ebikolwa eby’amaanyi bye yakolera Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ab'omulembe ogwo bonna ne bafa. Ne waddawo ab'omulembe ogwaddirira, abataamanya Mukama, wadde ebyo bye yakolera Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'ab'omulembe ogwo bonna ne bafa. Ne waddawo ab'omulembe ogwaddirira, abataamanya Mukama, wadde ebyo bye yakolera Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ab'emirembe egyo bonna ne bakuŋŋaanyizibwa eri bajjajjaabwe: ne wabaawo emirembe emirala egibaddirira, abataamanya Mukama, newakubadde omulimu gwe yakolera Isiraeri.