Judges 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baayabulira Omukama, Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu Misiri, ne bagoberera balubaale ab'amawanga agabetoolodde, ne babavunnamira, ne banyiiza Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne banyiiza Mukama kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde ne beerabira Mukama Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ye Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala ab'amawanga agabeetooloola, ne babavuunamira, ne basunguwaza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne basinza balubaale, ab'abantu ababeetoolodde, ne babavuunamira, ne basunguwaza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama ne bamuvaako, Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, ku bakatonda ab'amawanga agabeetooloola, ne babavuunamira, ne basunguwaza Mukama.