Judges 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli, n'abawaayo mu mikono gy'abanyazi ne babanyagulula, ne mu mikono gy'abalabe baabwe ababeetoolodde nga tebakyasobola kubagumira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isiraeri, n'abagabula mu mikono gy'abanyazi abaabanyaga, n'aleka abalabe babwe ababeetoolodde ne babawangula. Abaisiraeri nga tebakyasobola kwetaasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'abawaayo eri abanyazi ne babanyagako ebyabwe. N'aleka abalabe baabwe bonna abaali babeetoolodde, ne babawangula, Abayisirayeli nga tebakyasobola kwetaasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abagabula mu mikono gy'abanyazi abaabanyaga, n'abatunda mu mikono gy'abalabe baabwe okwetooloola, n'okuyinza ne batayinza nate kuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe.