Judges 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli buli lwe yagendanga okulwana, ng'Omukama abalemesa bawangulwe, nga bwe yali ayogedde era nga ne bwe yali alayidde okubakola; ne balaba nnyo ennaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli gye baatabaalanga ne bawangulwa kubanga Mukama yabavaako olw’ekibi kyabwe nga bwe yabalayirira; ne bawotookerera nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gye baatabaalanga yonna, omukono gwa Mukama ne gubaleeteranga akabi, nga Mukama bwe yayogera, era nga Mukama bwe yabalayirira; ne beeraliikirira nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lwe baagendanga mu lutalo, nga Mukama abaleetera akabi, nga bwe yali agambye okukola. Ne beeraliikirira nnyo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gye baatabaalanga yonna, omukono gwa Mukama ne gubaleeteranga akabi, nga Mukama bwe yayogera; era nga Mukama bwe yabalayirira: ne beeraliikirira nnyo.