Judges 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye tebaawuliriza balamuzi baabwe, wabula ate badda mu kukola bwamalaaya ne balubaale n'okubavunnamira. Obuwulize eri ebiragiro by'Omukama bajjajjaabwe bwe baalaga, bo baabusuula mangu; tebaakola nga bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne batawulira balamuzi baabwe, kubanga tebaali beesigwa, bagoberera bakatonda abalala, ne babavuunamira; ne baakyama mangu okuva mu kkubo bajjajjaabwe lye baatambulirangamu, nga bawulira ebiragiro bya Mukama; naye bo tebaakola bwe batyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abayisirayeli ne batawuliriza bakulembeze baabwe. Ne bataba beesigwa eri Mukama, wabula ne basinza balubaale. Bajjajjaabwe baawuliranga ebiragiro bya Mukama, naye bano tebaakola bwe batyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne batawulira balamuzi baabwe, kubanga baagenda nga bayenda nga bagoberera bakatonda abalala, ne babavuunamira: baakyama mangu okuva mu kkubo bajjajjaabwe lye baatambulirangamu, nga bawulira ebiragiro bya Mukama; bo tebaakola bwe batyo.