Judges 2:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bwe yabateekerangawo omulamuzi, nga Omukama abeera n'omulamuzi n'abanunula mu mikono gy'abalabe baabwe mu bbanga lye yamalanga ng'alamula. Anti Omukama yabakwatirwanga ekisa ng'alabye bwe basinda ennaku olw'abaabayigganyanga n'abaabanyigirizanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli Mukama lwe yabayimusizanga abalamuzi, Mukama n'abanga n'omulamuzi oyo, n'abawonyanga abalabe baabwe ebbanga lyonna omulamuzi oyo lye yamalanga nga mulamu; kubanga Mukama yabakwatiranga ekisa olw'okusinda kwabwe olw'abo ababeeraliikirizanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bwe yawanga Abayisirayeli omukulembeze, Mukama yayambanga omukulembeze oyo, era yabawonyanga abalabe baabwe, ebbanga lyonna omukulembeze lye yamalanga nga mulamu. Mukama yabakwatirwanga ekisa, kubanga baasindanga olw'okubonyaabonyezebwa n'okunyigirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama bwe yabayimusizanga abalamuzi, Mukama n'abanga n'omulamuzi, n’abalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe ennaku zonna ez'omulamuzi: kubanga Mukama ne yejjusa olw'okusinda kwabwe olw'abo abaabajooganga ne babeeraliikiriza.