Judges 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omulamuzi bwe yafanga, nga baddayo mu nsobi, nga bakola bubi n'okusinga bajjajjaabwe mu ngeri gye baagobererangamu balubaale n'okubavunnamira. Ne bagaana okuleka empisa zaabwe embi n'obukakanyavu bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omulamuzi bwe yafanga, abantu baddanga mu bibi byabwe eby'edda nga bakola bubi n'okusinga bajjajjaabwe, nga bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n'okubavuunamira; tebaakendeezanga ku bikolwa byabwe wadde okulekayo empisa zaabwe embi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omukulembeze bwe yafanga, abantu baddanga mu mize gyabwe egy'edda, ne baba babi n'okusinga bajjajjaabwe. Baaweerezanga era baasinzanga balubaale, ne bagaana okulekayo empisa zaabwe embi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye olwatuuka, omulamuzi bwe yamalanga okufa, ne baddanga ennyuma, ne bakola obubi okusinga bajjajjaabwe, nga bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n'okubavuunamira; tebaakendeezanga ku bikolwa byabwe so tebaalekanga kkubo lyabwe kkakanyavu.