Judges 2:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yali alese amawanga ago ne gasigalira; teyagagobaawo mangu era teyagawaayo mu mikono gya Yoswa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Mukama n’aleka amawanga gali mu nsi eyo, n’atagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olw'ekyo Mukama n'aleka ab'amawanga ag'omu nsi eyo, era teyaganya Yoswa kubawangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo Mukama n'aleka ab'amawanga ago mu nsi eyo, n'atabagobaamu mangu era n'ataganya Yoswa kubawangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'aleka amawanga gali, obutabagoba mangu; so teyabagabula mu mukono gwa Yoswa.