Judges 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange nno mbagamba nti sijja kubabagoberawo. Bajja kubakaluubiririza obulamu ne balubaale baabwe babafuukire omutego.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano kyenva ŋŋamba nti, ‘Siibafubutule mu maaso gammwe, naye banaaba balabe bammwe ne bakatonda baabwe banaaba nkonge gye muli.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange kyennava njogera nti Siibagobenga mu maaso gammwe naye banaabanga ng'amaggwa mu mbiriizi zammwe, ne ba katonda baabwe banaabanga kyambika gye muli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano mbagamba nti sirigobayo bantu abo nga mugendayo. Banaabanga balabe bammwe, era munaakemebwanga okusinza balubaale baabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange kyennava njogera nti Siibagobenga mu maaso gammwe; naye banaabanga ng’amaggwa mu mbiriizi zammwe, ne bakatonda baabwe banaabanga kyambika gye muli.