Judges 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama bwe yamala okwogera bino byonna eri Abayisirayeli bonna, bo ne bakuba ebiwoobe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka malayika wa Mukama bwe yabuulira abaana ba Isiraeri ebigambo ebyo, abantu ne batema emiranga ne bakaaba amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama bwe yamala okwogera ebyo, Abayisirayeli bonna ne batema emiranga, ne bakaaba amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka malayika wa Mukama bwe yabuulira ebigambo ebyo abaana ba Isiraeri, abantu ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba amaziga.