Judges 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa bwe yamala okusiibula abantu, Abayisirayeli ne badda buli omu mu busika bwe, ensi bagitwale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yoswa bwe yamala okulagira Abayisirayiri baabuke, buli omu ku bo n’agenda okugabana ekitundu kye yasuubizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yoswa bwe yamala okusiibula abantu, abaana ba Isiraeri ne bagenda buli omu mu butaka bwe yagabana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa n'asiibula Abayisirayeli ne bagenda, buli omu okufuna ekitundu ky'ensi kye yagabana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yoswa bwe yamala okusiibula abantu, abaana ba Isiraeri ne bagenda buli muntu mu busika bwe okulya ensi.