Judges 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu baaweerezanga Omukama ebbanga lyonna Yoswa ng'akyali mulamu, ne mu biseera by'abakadde abaawangaala okumusinga, abaamanya byonna Omukama bye yali akoledde Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ne baweerezanga Mukama mu kiseera kyonna ekya Yoswa era ne mu kiseera kyonna eky’abakulembeze abaawangaala okusinga Yoswa era abaalaba ebikolwa eby’amaanyi Mukama bye yakolera Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne baweerezanga Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaawangaala okusinga Yoswa, abaalaba omulimu gwonna Mukama gwe yakolera Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli baaweerezanga Mukama ebbanga lyonna Yoswa lye yamala nga mulamu, era n'ebbanga lyonna, nga wakyaliwo abakulembeze, abaamusinga okuwangaala, abaalaba ku bikuuno byonna, Mukama bye yakolera Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne baweerezanga Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde, abaawangaala okusinga Yoswa, abaalaba omulimu gwonna ogwa Mukama omunene gwe yakolera Isiraeri.