Judges 20:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tujja kulonda abasajja kkumi mu buli kikumi mu buli kika kya Yisirayeli, ate mu buli lukumi kikumi, ne mu buli mutwalo lukumi; bano baleetere eggye emmere nga lituuse e Gibewa mu Benyamiini lisobole okuwoolera eggwanga olw'okubeera eby'obugwagwa byonna bye baakola mu Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu kkumi ku bantu kikumi okuva mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abalala kikumi ku bantu olukumi, n’abalala lukumi ku bantu omutwalo ogumu bagende bafunire eggye ebyetaago. Eggye bwe lirituuka e Gibea eky’e Benyamini balyoke bababonereze ng’ekikolwa kyabwe eby’obugwenyufu bwe kiri, kye baakola mu Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekimu eky'ekkumi ku basajja mu Isiraeri kijja kusakira eggye emmere, abalala bonna bagende babonereze Gibea ekya Benyamini, olw'ekikolwa kino eky'obugwenyufu, kye baakola mu Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekimu eky'ekkumi ku basajja mu Yisirayeli kijja kusakira eggye emmere, abalala bonna bagende babonereze Gibeya ekya Benyamiini, olw'ekikolwa kino eky'obugwenyufu, kye baakola mu Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era tuliggya abasajja kkumi ku buli kyasa okubunya ebika byonna ebya Isiraeri, era kikumi ku buli lukumi, era lukumi ku buli kakumi, okusakira abantu emmere, bwe balituuka e Gibea ekya Benyamini balyoke bakole ng'obusirusiru bwonna bwe buli bwe baakolera mu Isiraeri.