Judges 20:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleete abantu abo abagwagwa ab'omu Gibewa tubatte, Yisirayeli tuginaazeeko ekibi kino.” Naye Ababenyamiini tebaawuliriza baganda baabwe Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kaakano muweeyo abasajja abaana b’ebikolwa ebitali bya butuukirivu abali mu Gibea tubatte, tuggyewo ekibi mu Isirayiri.” Naye abaana ba Benyamini ne bagaana okuwuliriza eddoboozi ly’abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano muweeyo abasajja abo abagwenyufu abali mu Gibea tubatte, tulyoke tuggyewo obubi mu Isiraeri.” Naye ab'ekika kya Benyamini nebagaana okuwulira ab'ebika bya Isiraeri abalala kye babagamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano muweeyo abasajja abagwenyufu abaali mu Gibeya tubatte okuggyawo ekibi kino mu Yisirayeli.” Naye aba Benyamiini ne bagaana okuwuliriza Abayisirayeli bannaabwe abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano muweeyo abasajja, abaana aba Beriali; abaali mu Gibea; tulyoke tubatte, tuggyemu obubi mu Isiraeri. Naye Benyamini n'agaana okuwulira eddoboozi lya baganda baabwe abaana ba Isiraeri.