Judges 20:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Ababenyamiini ne bakunga mu bibuga abasajja emitwalo ebiri mu kakaaga abakwasi b'ebitala, nga tobaze olusanvu abalondobe mu batuuze b'omu Gibewa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo, abaana ba Benyamini ne bavaayo okuva mu bibuga abasajja abalina ebitala emitwalo ebiri mu kakaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo ab'ekika kya Benyamini ne bakuŋŋaanya abalwanyisanga ebitala emitwalo ebiri mu kakaaga (26,000), okuva mu bibuga ebirala okwongereza kw'abo olusanvu (700) abalondemu abaali mu Gibea.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bibuga byabwe ne bayitayo abaserikale emitwalo ebiri mu kakaaga ku lunaku olwo. Okwongereza ku abo, ab'e Gibeya ne bakuŋŋaanya abasajja lusanvu abalondemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Benyamini ne bababala ku lunaku olwo abaava mu bibuga abassajja abaasowolanga ebitala obukumi bubiri mu kakaaga, obutassaako abo abaatuula mu Gibea be baabala abasajja abalonde lusanvu.