Judges 20:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja lusanvu abalondobe, ab'enkonokono, nga bwe baweereza oluviiri envuumuulo y'ejjinja, terubalema kuteeba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja abalondemu lusanvu abakozesa kkono. Buli omu ku bo yayinzanga okuteeka ejjinja mu nvumuulo ekube oluviiri, n’atasubwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu bantu bano bonna mwalimu abasajja lusanvu (700) abalondemu ab'enkonokono, abaalwanyisanga envumulo nga tebasubwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja abalondemu lusanvu abakozesa kkono. Buli omu ku bo yayinzanga okuteeka ejjinja mu nvuumuulo akube oluviiri, n'atasubwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu bantu bano bonna mwalimu abasajja abalonde aba kkono lusanvu; buli omu yayinza okuvuumuulira amayinja oluviiri, n’atasubwa: