Judges 20:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Yisirayeli, ng'oggyeeko Ababenyamiini, yakunga emitwalo amakumi ana abakwata ebitala, bonna nga basajja batabaazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ba Isirayiri, nga totaddeeko abava mu Benyamini, ne bakuŋŋaana abasajja abalwanyi abasitula ebitala, emitwalo amakumi ana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebika bya Isiraeri ebirala ne bakuŋŋaanya abasajja abazira abaalwanyisanga ebitala obusiriivu buna (400,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebika bya Yisirayeli ebirala ne bikuŋŋaanya abalwanyi abazira emitwalo amakumi ana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ba Isiraeri, obutassaako Benyamini, baababala abasajja abaasowolanga ebitala obusiriivu buna: abo bonna nga bazira.