Judges 20:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bajja mu Beteli ne beebuuza ku Katonda, ne bagamba nti: “Ani mu ffe anaasooka okwambuka okulwanyisa Ababenyamiini?” Omukama n'abaanukula nti: “Yuda y'anaasooka okwambuka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka ne bayambuka e Beseri ne beebuuza ku Katonda nga bagamba nti, “Ani ku ffe alisooka okugenda okulwanyisa abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Yuda yalisooka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne basituka ne bagenda e Beseri ne babuuza Katonda, “Ani ku ffe anaasooka okugenda okulwanyisa Benyamini.” Mukama n'abagamba nti, “Yuda ye alisooka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne beesitula ne bambuka e Beteli okusinza, ne babuuza Katonda nti: “Kika ki ekiba kisooka okulumba Ababenyamiini?” Ne Mukama n'addamu nti: “Ekika kya Yuda kye kiba kisooka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bagolokoka, ne bayambuka e Beseri, ne babuuza Katonda abalagule; ne bagamba nti Ani alisooka okutwambukira okulwana: n'abaana ba Benyamini? Mukama n'ayogera nti Yuda ye alisooka.