Judges 20:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulembeze b'ebika byonna eby'abantu bonna aba Yisirayeli ne beetaba mu lukuŋŋaana lw'abantu ba Katonda; baali obusiriivu buna obw'abatabaazi ab'ebigere abakwasi b'ebitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze b’abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri ne batuula mu bifo byabwe mu kuŋŋaaniro ly’abantu ba Katonda, nga bawera abaserikale abaalina ebitala, emitwalo amakumi ana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulembeze b'abantu bonna, ab'ebika byonna ebya Isiraeri, ne beeraga mu kkuŋŋaaniro ly'abantu ba Katonda, abasajja abalwanyisa ebitala abatambuza ebigere obusiriivu buna (400,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze b'Ebika bya Yisirayeli byonna baaliwo mu lukuŋŋaana lw'abantu ba Katonda, abaserikale emitwalo ena abatambuza ebigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakungu b'abantu bonna, ab'ebika byonna ebya Isiraeri, ne beeraga mu kkuŋŋaaniro ly'abantu ba Katonda, abasajja abatambula n'ebigere abaasowolanga ebitala obusiriivu buna.