Judges 20:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Ababenyamiini ne bava mu Gibewa, ne batta mu ddwaniro abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu Bayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne batta abasajja ba Isirayiri emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lutalo ku lunaku olwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abalwanyi ba Benyamini ne bava mu Gibea ne balumba ne batta ku lunaku olwo abasajja abalwanyi ba Isiraeri emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababenyamiini ne bava Gibeya okulwana, ne batta abaserikale emitwalo ebiri ab'Abayisirayeli olunaku olwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne bamegga wansi ne bazikiriza ku lunaku olwo abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri ku Baisiraeri.