Judges 20:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne bambuka ne bakaabira mu maaso g'Omukama okutuusa akawungeezi; ne bamwebuuzaako, ne bamugamba nti: “Tuddemu okulumba Ababenyamiini baganda baffe?” Omukama n'abaanukula nti: “Mubalumbe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaana ba Isirayiri ne bambuka ne bakaabira Mukama okutuusa akawungeezi. Ne beebuuza ku Mukama nti, “Tuddeyo tulwanyise baganda baffe abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende mubalwanyise.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abaana ba Isiraeri ne baakabira amaziga mu maaso ga Mukama okutuusa akawungeezi. Ne bamubuuza nti, “Tugende nate okulwanyisa baganda baffe ab'ekika kya Benyamini.” Mukama n'addamu nti, “Mugende mulwane nabo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Basooka kwambuka gye basinziza, ne bakungubagira mu maaso ga Mukama okutuusa akawungeezi. Ne babuuza Mukama nti: “Tuddemu okulwanyisa baganda baffe Ababenyamiini?” Mukama n'addamu nti: “Mugende mubalwanyise.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Era abaana ba Isiraeri ne balinnya ne bakaabira amaziga mu maaso ga Mukama okutuusa akawungeezi; ne babuuza Mukama nga boogera nti Naasembera nate okulwana n'abaana ba Benyamini muganda wange? Mukama n'ayogera nti Yambuka okulwana naye.)