Judges 20:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo Abayisirayeli n'abantu bonna ne bajja e Beteli, ne bakaabira mu maaso g'Omukama. Ne basiiba olunaku lwonna okutuusa akawungeezi, ne baweereza Omukama ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaana ba Isirayiri bonna n’abantu bonna, ne bambuka okulaga e Beseri, ne bakaabira Mukama Katonda ne batuula eyo mu maaso ge ne basiiba olunaku olwo okutuusa akawungeezi, lwe baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eggye ly'abaana ba Isiraeri n'abantu bonna ne bambuka e Beseri ne bakaabira eyo amaziga ne basiiba ku lunaku olwo okutuuka akawungeezi; ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'eggye lyonna ery'Abayisirayeli ne bambuka e Beteli, ne bakungubaga. Ne babeera eyo mu maaso ga Mukama, ne batalya okutuusa akawungeezi. Ne bawaayo mu maaso ga Mukama ebitambiro ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Isiraeri bonna n'abantu bonna ne balyoka balinnya ne batuuka e Beseri, ne bakaaba amaziga, ne batuula eyo mu maaso ga Mukama, ne basiiba ku lunaku olwo okutuusa akawungeezi; ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama: