Judges 20:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne beebuuza ku Mukama. Mu budde obwo Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama yali ebeera eyo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne beebuuza ku Mukama Katonda, kubanga essanduuko ey’endagaano ya Katonda yaliyo mu biro ebyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama, ne ssanduuko ey'endagaano eya Katonda yali Beseri mu nnaku ezo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biro ebyo, Essanduuko ey'Endagaano ya Katonda yabeeranga eyo e Beteli, era nga Finehaasi, mutabani wa Eleyazaari era muzzukulu wa Arooni ye agirabirira. Abayisirayeli ne babuuza Mukama nti: “Tuddemu nate okulwanyisa baganda baffe Ababenyamiini, nandiki tulekere awo?” Mukama n'addamu nti: “Mugende mulwane, kubanga enkya nja kuwaayo Ababenyamiini mu mikono gyammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama, (kubanga ssanduuko ey'endagaano ya Katonda yaliyo mu nnaku ezo,