Judges 20:28 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Finekasi mutabani wa Eleyazari mutabani wa Aroni ye yaweerezanga mu maaso gaayo. Ne beebuuza nti: “Tuddemu okulumba Ababenyamiini baganda baffe?” Omukama n'abagamba nti: “Mulumbe, kubanga enkya nzija kubabawa mu mikono gyammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni yaweereza mu maaso ga Mukama Katonda. Ne bamwebuuzaako nga bagamba nti, “Tuddeyo tulumbe baganda baffe abaana ba Benyamini oba tetuddayo?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende kubanga enkya nzija kubagabula mu mukono gwammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali muzzukulu wa Alooni ye yagirabiriranga; ne babuuza Mukama nti, “Tugende tulwanyise baganda baffe ab'ekika kya Benyamini omulundi ogwokusatu oba nedda?” Mukama n'addamu nti, “Mugende mulwane, kubanga enkya n'abagabula mu mikono ggyammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni yayimiriranga mu maaso gaayo mu nnaku ezo) nga boogera nti Naafuluma nate omulundi ogw'okusatu okulwana n'abaana ba Benyamini muganda wange nantiki naalekera awo? Mukama n'ayogera nti Yambuka, kubanga enkya naamugabula mu mukono gwo.