Judges 20:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababenyamiini ne bawulira nti Abayisirayeli bambuse e Mizupa. Bo Abayisirayeli ne babuuza nti: “Ekibi kino kyakolebwa kitya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaana ba Benyamini ne bawulira nti Abantu ba Isirayiri bambuse e Mizupa. Abaana ba Isirayiri ne boogera nti, “Ekintu kino eky’ekivve bwe kiti, kyabaawo kitya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ab'ekika kya Benyamini ne bawulira nga ebika bya Isiraeri ebirala bakuŋŋaanidde e Mizupa. Abaana ba Isiraeri ne babuuza Omuleevi nti, “Obubi buno bwakolebwa butya?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo ab'Ekika kya Benyamiini ne bawulira ng'Abayisirayeli abalala bakuŋŋaanidde e Mizupa. Abayisirayeli ne babuuza nti: “Tubuulire, omusango guno gwazzibwa gutya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Era abaana ba Benyamini baali bawulidde ng'abaana ba Isiraeri bayambuse e Mizupa.) Abaana ba Isiraeri ne boogera nti Tubuulire, obubi buno bwakolebwa butya?