Judges 20:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'Ababenyamiini ne bavaayo okubasisinkana, ne batwalirizibwa okuleka ekibuga emabega; ne basooka okutta mu Bayisirayeli nga bwe baakola ku mirundi egyasooka; abantu bangi abaafiira ku makubo, eriraga e Beteli n'eriraga e Gibewa, n'abandi ku ttale; baawera abasajja amakumi asatu okuva mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Benyamini ne bavaayo okubalwanyisa ne basikirizibwa okuva mu kibuga, ne batandika okukuba n’okutta ng’olulala, nga bava ku luguudo olumu okudda e Beseri, ne ku lulala oludda e Gibea mu nnimiro. Ne batta abasajja Abayisirayiri ng’amakumi asatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'ekika kya Benyamini ne bafuluma okulwanyisa Abaisiraeri ab'ebika ebirala, ne basendebwasendebwa okufuluma mu kibuga; ne battira abalwanyi aba Isiraeri nga asatu (30) ku luguudo olugenda e Beseri, n'olulala olugenda e Gibea, ne mu nnimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababenyamiini ne bavaayo okulwana, ne basikirizibwa okwesuula ekibuga. Ng'olulala, ne batandika okukubira n'okuttira abamu ku Bayisirayeli awatangaavu, ku luguudo olumu olwambuka e Beteli, ne ku lulala olugenda e Gibeya. Ne battayo Abayisirayeli ng'amakumi asatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Benyamini ne bafuluma okulwana n'abantu, ne basendebwasendebwa okuva ku kibuga; ne batanula okukuba n'okutta ku bantu ng'olulala, mu nguudo, olumu lwe lwambuka e Beseri, n'olulala e Gibea, ne mu nnimiro, abasajja ba Isiraeri ng'asatu.