Judges 20:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababenyamiini baali balowooza nti: “Tubagobye nga bwe gwali mu kusooka,” nga n'Abayisirayeli bagamba nti: “Mugire tukube akaddannyuma tubaggye mu kibuga bajje eno mu nguudo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Benyamini bwe baagambanga nti, “Tubawangula nga luli bwe kyali ku mulundi ogwasooka,” Abayisirayiri bo ne beeteesa nti, “Tuddeyoko emabega, tubasikirize okubaggya mu kibuga badde mu nguudo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'ekika kya Benyamini ne boogera nti, “Tubawangudde nga olulala.” Naye ab'ebika bya Isiraeri ebirala ne bagamba nti, “ Tudduke, tubasendesende okuva ku kibuga bagende mu nguudo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababenyamiini ne bagamba nti: “Tubawangudde nga bwe twakola ku mirundi egyasooka.” Naye Abayisirayeli ne bagamba nti: “Tudduke, tubasikirize okwesuula ekibuga, badde mu nguudo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Benyamini ne boogera nti Bameggeddwa mu maaso gaffe ng'olubereberye. Naye abaana ba Isiraeri ne boogera nti Tudduke, tubasendesende okuva ku kibuga bagende mu nguudo.