Judges 20:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abasajja ba Yisirayeli ne basituka mu bifo byabwe ne bagenda balindira e Baali-Tamari. Awo Abayisirayeli abaali beekwese ne bafubutukayo mu bifo byabwe, ne balumba ebugwanjuba wa Gibewa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bonna aba Isirayiri ne bava mu nnyiriri zaabwe mu bifo byabwe, ne badda e Baalutamali. Abayisirayiri abaateega ne bafubutuka okuva mu bifo byabwe mu ttale erya Gibea.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja abalwanyi ab'ebika bya Isiraeri ebirala byonna, ne basituka ne bava mu bifo byabwe, ne basimba ennyiriri zaabwe e Baalutamali; n'abateezi ba Isiraeri ne bafubutuka okuva mu kifo kyabwe e Maalegeba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna ne baseguka mu kifo kyabwe, ne basimba ennyiriri zaabwe e Baalitamari. Olwo Abayisirayeli abaateeze ne bafubutuka mu bifo byabwe ebugwanjuba wa Gibeya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ba Isiraeri bonna ne bagolokoka ne bava mu kifo kyabwe, ne basimba ennyiriri zaabwe mu Baalutamali: n'abateezi ba Isiraeri ne bafubutuka okuva mu kifo kyabwe, okuva mu Maalegeba.