Judges 20:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja mutwalo mulamba abalondobe mu Yisirayeli yenna ne bajja balumba Gibewa, olutalo ne lunyiinyittira. Ababenyamiini tebaamanya kabi kabatuukiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja omutwalo gumu abaalondebwa okuva mu Isirayiri yonna, ne balumba Gibea ne waba okulwana okw’amaanyi, Ababenyamini ne batamanya nti akabi kabajjidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja abalwanyi omutwalo gumu (10,000) abaalondebwa mu bika bya Isiraeri ebirala byonna ne balumba Gibea. Ne balwana nnyo. Naye ab'ekika kya Benyamini baali tebamanyi ng'akabi kabali kumpi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja lukumi abaalondebwa mu Yisirayeli yonna, ne balumba Gibeya. Ne balwana nnyo. Naye Ababenyamiini baali tebamanyi ng'akabi kabali kumpi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wayita okulwana ne Gibea abasajja abaalondebwa mu Isiraeri yenna, kakumi, ne balwana nnyo: naye baali tebamanyi ng'akabi kabali kumpi.