Judges 20:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababenyamiini ne balaba nga bagobeddwa. Abayisirayeli baasooka kudduka Benyamiini, kubanga baali beesiga bali be baali balese beekwekeredde Gibewa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa. Abasajja ba Isirayiri ne bakolera Ababenyamini ekkubo, nga bo Abayisirayiri beesize abateezi be baali batadde okumpi ne Gibea.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ab'ekika kya Benyamini ne bamanya nga bawanguddwa, Abaisiraeri nga bwe baawangulwa. Abasajja abalwanyi aba Isiraeri baasegulira Benyamini kubanga bali beesize abateezi be bali bateezezza e Gibea.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ababenyamiini ne bamanya nga bawanguddwa. Abayisirayeli baasegulira Ababenyamiini, kubanga baali beesiga abateezi, be baateegesa ku Gibeya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa: kubanga abasajja ba Isiraeri baasegulira Benyamini, kubanga baali beesize abateezi be baali bateezezza e Gibea.