Judges 20:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali beekwese baafubutuka ne bayingira Gibewa, ne basaasaana wonna mu kibuga, kyonna ne bakitta n'ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaali bateeze ne badduka ne beesogga mu Gibea, ne basaasaana ne batta abaakirimu bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abateezi bano bayanguwa mangu nga bava ku njuuyi zonna okuyingira mu kibuga Gibea, ne batta abantu bonna abalimu n'obwogi bwe kitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abateezi bano badduka mangu, ne bazinda Gibeya, ne batta abaakirimu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abateezi ne banguwa ne bafubutuka ku Gibea; abateezi ne basembera enjuyi zonna, ne batta ekibuga kyonna n'obwogi bw'ekitala.