Judges 20:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ba Yisirayeli baali bagambye abaakola ogw'okwekwekerera nti bwe banaanyoosa omukka okuva mu kibuga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ba Isirayiri baali balagaanye n’abaateega nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalwanyi ab'ebika ebirala eby'Abaisiraeri n'abateezi baabwe baali balagaanye akabonero kano nti abateezi bwe bananyoosa omukka omungi mu kibuga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggye ly'Abayisirayeli n'abateezi, baali balagaanye akabonero, nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era akabonero abasajja ba Isiraeri n'abateezi ke baali balagaanye ke kano, bo akunyoosa ekire ekinene eky'omukka okuva mu kibuga.