Judges 20:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo abasajja ba Yisirayeli nga bakomawo mu ddwaniro. Ababenyamiini baali basoose okukuba Abayisirayeli, nga basse ng'amakumi asatu, ne balowooza nti: “Tubagobye nga bwe gwali mu lutalo olwasooka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abasajja ba Isirayiri abali mu ddwaniro banaakyuka. Mu kiseera ekyo Ababenyamini baali batanudde okukuba n’okutta abasajja ba Isirayiri ng’amakumi asatu, nga luli olwasooka. Ne bagamba nti, “Ddala ddala tubawangudde nga mu lutalo luli olwasooka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga abalwanyi ab'ebika ebirala ebya Isiraeri nga bakyuka. Olwo ab'ekika kya Benyamini baali bamaze okutta Abaisiraeri ng'asatu (30). Ne bagambagana nti, “Tubawangudde, nga bwe twakola mu kulwanagana okwasooka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli abali mu ddwaniro nga bakyusa. Olwo Ababenyamiini baali bamaze okutta Abayisirayeli ng'amakumi asatu. ne bagambagana nti: “Tubawangudde, nga bwe twakola mu kulwanagana okwasooka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ba Isiraeri ne bakyuka mu lutalo, ne Benyamini n'atanula okukuba n'okutta ku basajja ba Isiraeri abasajja ng'asatu: kubanga baayogera nti Mazima bameggeddwa mu maaso gaffe nga mu lutabaalo olw'olubereberye.