Judges 20:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja Omuleevi, bba w'omukazi eyatemulibwa, n'ayanukula nti: “Najja mu Gibewa ekya Benyamiini nga ndi n'omuzaana wange nsule eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuleevi bba w’omukazi eyattibwa n’addamu nti, “Natuuka e Gibea ekya Benyamini, ne mukazi wange, tusule eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Omuleevi bba w'omukazi gwe batta, n'addamu n'ayogera nti, “N'atuuka e Gibea, ekya Benyamini, nga ndi ne mukazi wange, okusulayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuleevi bba w'omukazi eyattibwa, n'addamu nti: “Natuuka e Gibeya mu kitundu kya Benyamiini okusulayo, nga ndi wamu ne mukazi wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Omuleevi bba w'omukazi gwe batta, n'addamu n’ayogera nti Natuuka e Gibea, ekya Benyamini, nze n'omuzaana wange, okusulayo.