Judges 20:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omukka mu kibuga bwe gwasooka okunyooka, Ababenyamiini ne bakebuka, ne balaba ng'ekibuga kittunka, omukka nga gwambuka ku ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omukka bwe gwatandika okunyooka, ekibuga kyonna nga kigya, Ababenyamini ne bakyuka okutunula emabega, laba, ng’ekibuga kyonna kikutte omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olwo akabonero ne kalabika. Ekire ky'omukka ekiri ng'empagi ne kinyooka okuva mu kibuga okutuuka ku ggulu. Ab'ekika kya Benyamini bwe bakyuka okutunula emabega, ne balaba ekibuga kyonna nga kiggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olwo akabonero ne kalabika. Ekire ky'omukka ekiri ng'empagi ne kinyooka okuva mu kibuga okutuuka ku ggulu. Ababenyamiini bwe baakyuka okutunula emabega, ne balaba ekibuga kyonna nga kiggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekire bwe kyasooka okunyooka okuva mu kibuga ng'empagi y'omukka, Ababenyamini ne batunula ennyuma, era, laba, ekibuga kyonna nga kinyooka akutuusa mu ggulu.