Judges 20:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababenyamiini ne badduka abasajja ba Yisirayeli nga badda mu ddungu, naye era olutalo ne lubagobererayo, anti Abayisirayeli abaava mu bibuga baabasangayo ne babakubirayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyebaava badduka abasajja ba Isirayiri nga baddukira mu ddungu, kyokka olutalo ne lubayinza. Buli eyadduka okuva mu bibuga n’afiira wamu nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abalwanyi ab'ekika kya Benyamini ne bakyuka ne baddukira mu kkubo eridda mu ddungu; ne ggye lya ba Isiraeri ab'ebika ebirala ne babawondera, n'abateezi abava mu kibuga ne babazikiririza wakati awo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bakuba Abayisirayeli amabega, baddukire mu kkubo eriraga mu ddungu, naye nga tebalina gye badda! Ne bakwatibwa wakati w'eggye ly'Abayisirayeli n'abateezi abaali bava mu kibuga, ne bazikirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bakuba amabega mu maaso g'abasajja ba Isiraeri okugenda mu kkubo eridda mu ddungu; naye olutalo ne lubagoberera kumpi; nabo abaava mu bibuga ne babazikiriza wakati mu byo.