Judges 20:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baazingiza Ababenyamiini ne babamerako obutabaweeza, ne babalinnyirira okutuusiza ddala kumpi ne Gibewa ebuvanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ne bazingiza Ababenyamini, ne babagoba okutuukira ddala ku buvanjuba bw’e Gibea we butandikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aba Isiraeri ab'ebika ebirala ne bazingiza ab'ekika kya Benyamini enjuyi zonna, ne babattira ddala okutuuka e Gibea ku luuyi olw'ebuvanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bazingiza Ababenyamiini enjuyi zonna, ne babawondera awatali kuweera, okutuusa mu kitundu eky'ebuvanjuba wa Gibeya, nga bagenda babatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bazingiza Ababenyamini enjuyi zonna, ne babayigganya, ne babalinnyirira mu bisulo byabwe, okutuusa emitala w'e Gibea ku luuyi lw'ebuvanjuba.