Judges 20:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaasigalawo bwe baali badduka nga badda mu ddungu okulaga ku lwazi lw'e Rimmoni, Abayisirayeli ne babattiramu eyo ku makubo enkumi ttaano. Ne bongera okubagoba obutabaweeza okutuukira ddala e Gidomu, ne babattamu abalala enkumi bbiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ababenyamini bwe baddukira mu ddungu nga boolekedde olwazi lwa Limoni, Abayisirayiri ne batta enkumi ttaano ku bo. Abayisirayiri ne bongera okubagobera ddala okutuuka e Gidomu, era n’eyo ne battirayo abasajja enkumi bbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaafikkawo ne baddukira mu kkubo ery'e ddungu okutuuka ku jjinja lya Limoni; eggye ly'ebika ebirala ebya Isiraeri ne libawondera ne babattamu abalwanyi enkumi ttaano (5,000), neriwondera nabo abaali baddukidde e Gidomu ne libattamu abalwanyi enkumi bbiri (2,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalala ne bakyuka ne badduka nga badda awatangaavu, nga boolekedde Olwazi lwa Rimmoni. Enkumi ttaano ne battibwa ku luguudo. Abayisirayeli ne bongera okuwondera abaasigaddewo, okutuuka e Gidoma, ne babattamu enkumi bbiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakyuka ne badduka mu kkubo ly'eddungu okutuuka ku jjinja lya Limoni: ne bafuuza abaali badduse mu nguudo abasajja enkumi ttaano; ne babayigganya okutuuka e Gidomu, ne babattako abasajja enkumi bbiri.