Judges 20:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abaafa ku olwo mu Benyamiini baawera emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, abasajja abambalira ebitala, bonna abaali abasajja abeesobola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo Ababenyamini bonna abaafa ku lunaku olwo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, bonna abo nga basajja bazira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo abalwanyi abaafa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), bonna abo nga basajja bazira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo Ababenyamiini bonna abaafa ku lunaku olwo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, bonna abo nga basajja bazira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo bonna abaagwa ku lunaku olwo ku Benyamini baali abasajja obukumi bubiri mu enkumi ttaano abaasowolanga ebitala; abo bonna basajja bazira: