Judges 20:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abasajja lukaaga ne baddukira mu ddungu ku lwazi lw'e Rimmoni, ne babeera eyo okumala emyezi ena.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abasajja lukaaga be baddukira mu ddungu okwolekera olwazi lwa Limoni, ne babeera eyo okumala emyezi ena.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abasajja abalwanyi abalala ab'omu kika kya Benyamini lukaaga (600) ne baddukira mu kkubo ery'e ddungu ne baatuka ku jjinja lya Limoni, ne beekweka eyo okumala emyezi ena (4).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abasajja lukaaga be baasobola okuddukira awatangaavu ne batuuka ku Lwazi lwa Rimmoni, ne babeera eyo emyezi ena.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abasajja lukaaga ne bakyuka ne baddukira mu kkubo ly'eddungu ne batuuka ku jjinja lya Limoni, ne babeera mu jjinja lya Limoni okumalayo emyezi ena.