Judges 20:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne bakyukira Ababenyamiini, ne batta n'ekitala abasajja bonna mu bibuga, n'ebisolo, na buli kintu kye baasangirizanga; buli kibuga kye baatuukangako nga bakiteekera omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ba Isirayiri ne bakyuka ne baddayo eri abaana ba Benyamini ne batta buli kintu ekyali mu kibuga, ne batta ensolo, ne batta buli muntu gwe baasanga mu bibuga byonna bye baalaba, ne babikumako omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalwanyi ab'ebika ebirala ebya Isiraeri ne bakyukira ab'ekika kya Benyamini ne babatta bonna; abasajja, abakazi, abaana ne nsolo. Ne bookya ebibuga byabwe byonna mu kitundu ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bakyuka nate okulwanyisa Ababenyamiini abaasigalawo, ne babatta bonna, abasajja n'abakazi, n'abaana abato, obutataliza wadde ensolo. Era ne bookya ebibuga byonna mu kitundu ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ba Isiraeri ne bakyuka nate okulwana n'abaana ba Benyamini, ne babatta n'obwogi bw'ekitala, ekibuga kyonna era n'ente ne byonna bye baasanga: era n'ebibuga byonna bye baasanga ne babyokya.