Judges 20:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakwata omuzaana wange ne mmusalaasalamu ebitundu, ne mbiweereza wonna mu busika bwa Yisirayeli, kubanga baakola ekibi kino, ekikolwa eky'obugwagwa, mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyennava ntwala mukazi wange ne musalaasala, ne mpeereza ebitundu bye mu buli kifo eky’omugabo gwa Isirayiri, kubanga baakola ekikolwa eky’obugwenyufu era eky’ekivve.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ntwala omulambo gwa mukazi wange nnengusalaasalamu ebitundu, ne mbiweereza okubunya ensi yonna ey'obusika bwa Isiraeri; kubanga baakola eby'obugwenyufu mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ntwala omulambo gwe, ne ngusalaasalamu ebitundu, ne mbiweereza ensi yonna eyagabanibwa Yisirayeli, kubanga baakola eky'ekivve era eky'obusirusiru mu Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ntwala omuzaana wange, ne mmusalaasala ebitundu, ne mmuweereza okubunya ensi yonna ey'obusika bwa Isiraeri: kubanga baakola eky'obukaba era eky'obusirusiru mu Isiraeri.