Judges 20:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne bayimirira ng'omuntu omu ne bagamba nti: “Tetujja kudda mu weema zaffe, tetujja kudda mu nnyumba zaffe, mpaawo n'omu mu ffe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bonna ne bagolokoka nga bali omuntu omu, ne boogera nti, “Tewali muntu mu ffe aliddayo ewuwe. Tewali aliddayo mu nnyumba ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ne basituka ng'omuntu omu nga boogera nti, “Tewali n'omu ku ffe ajja kuddayo mu weema ye oba nju ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna ne basituka ng'omuntu omu, ne bagamba nti: “Tewali n'omu mu ffe anaddayo mu weema ye oba mu nnyumba ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna ne bagolokoka ng'omuntu omu nga boogera nu Tewali muntu mu ffe aligenda mu weema ye, so tewali mu ffe alikyama okuyingira mu nnyumba ye.