Judges 21:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli baali balayidde e Mizupa nti: “Mu ffe tewaba awa Mubenyamiini muwala we abeere mukazi we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ba Isirayiri baali beerayiridde e Mizupa nti, “Tewabanga n’omu ku ffe awaayo muwala we okufumbirwa Benyamini.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ab'ebika ebirala ebya Isiraeri baali balayiridde e Mizupa nga boogera nti, “Tewabanga n'omu ku ffe awaayo muwalawe eri omu Benyamini yenna okumuwasa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli baali balayiridde e Mizupa nti: “Tewali n'omu mu ffe aliwa wa mu Kika kya Benyamiini muwala we okumuwasa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abasajja ba Isiraeri baali balayidde mu Mizupa nga boogera nti Tewabanga ku ffe alimuwa Benyamini omuwala we okumuwasa.