Judges 21:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna ne kituma ababaka, ne boogera eri Ababenyamiini abaali ku lwazi lw'e Rimmoni, ne babatuusaako obubaka obw'okutabagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye ne kiweereza abaana ba Benyamini abaali ku lwazi lwa Limoni obubaka obw’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekibiina kyonna ne kitumira abaana ba Benyamini abaali mu jjinja lya Limoni obubaka obw'okukomya olutalo wabeewo emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekibiina kyonna, ne kitumira Ababenyamiini abaali ku lwazi lw'e Rimmoni obubaka obw'okukomya olutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekibiina kyonna ne batuma ne boogera n'abaana ba Benyamini abaali mu jjinja lya Limoni, ne babalangira emirembe.