Judges 21:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababenyamiini ne bajja mu budde obwo, ne baweebwa bawala b'e Yabesi-Gileyaadi abaali bataliziddwawo; naye baali tebabamala bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ababenyamini ne bakomawo mu kiseera ekyo, era ne baweebwa abawala abaawonawo ku bawala ab’e Yabesugireyaadi, naye ne batabamala bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo, Ababenyamini ne bakomawo, aba Isiraeri ab'ebika ebirala ne babawa abawala be bajja e Yabesugireyaadi abattatibwa, naye ne batabamala bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ababenyamiini ne bakomawo, Abayisirayeli abalala ne babawa abawala ab'e Yebusi abatattibwa, naye ne batabamala bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Benyamini n'akomawo mu biro ebyo; ne babawa abakazi be baali bawonyezza okubatta ku bakazi ab'e Yabesugireyaadi: era naye ne batabamala bwe batyo.