Judges 21:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakadde b'ekibiina ne bagamba nti: “Abakazi bonna mu Benyamiini bamaze ne battibwa, tuggye wa abakazi okuwa abasajja abasigaddewo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakadde b’olukuŋŋaana ne bagamba nti, “Abakazi b’Ababenyamini baazikirizibwa, kaakano abasajja abasigaddewo, tunabalabira wa abakazi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakadde b'ekibiina ne beebuuza nti, “Abasajja abasigaddewo tunabafunira tutya abakazi, kubanga abakazi bonna ab'Abenyamini bazikirizibbwa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakulembeze mu kibiina ne bagamba nti: “Tewakyaliwo bakazi mu Babenyamiini. Abasajja abasigaddewo, tunaabalabira wa abakazi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakadde b'ekibiina ne boogera nti Tulirabira tutya abakazi abo abasigaddewo; kubanga abakazi bazikirizibbwa mu Benyamini?