Judges 21:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bawala baffe tetuyinza kubabawa olw'ekirayiro kye twakola nti: ‘Avumirirwe oyo aliwa Benyamiini omukazi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate tetuyinza kubawa ku bawala baffe kubawasa, kubanga ffe abaana ba Isirayiri tweyama nga tugamba nti, ‘Akolimirwe aliwa Omubenyamini muwala we okumuwasa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tetuyinza kubawa ku bawala baffe okubawasa,” kubanga abaana ba Isiraeri baali balayidde nga boogera nti, “Akolimirwe oyo awa Benyamini omukazi okuwasa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye tetuyinza kubawa ku bawala baffe kubawasa, kubanga Abayisirayeli twalayira ne tukolimira buli aliwa Omubenyamiini muwala we okumuwasa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tetuyinza kubawa ku bawala baffe okubawasa: kubanga abaana ba Isiraeri baali balayidde nga boogera nti Akolimirwe oyo awa Benyamini omukazi okuwasa.