Judges 21:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bajja e Beteli ne batuula mu maaso ga Katonda okutuusa akawungeezi; ne basitula amaloboozi gaabwe ne bakaaba nnyo nga bagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu ne bagenda e Beseri ne batuula eyo okutuusa akawungeezi nga bakaabira Katonda, nga bayimusa eddoboozi lyabwe, nga bakuba ebiwoobe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne bagenda e Beseri mu maaso ga Mukama, ne babeera eyo okuva enkya okutuusa akawungeezi, ne bayimusa amaloboozi gabwe ne bakaaba nnyo amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli ne bagenda e Beteli, ne batuula eyo mu maaso ga Mukama, okutuusa akawungeezi. Ne batema emiranga ne bakaaba nnyo amaziga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bajja e Beseri, ne batuula eyo okutuusa akawungeezi mu maaso ga Katonda, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba nnyo amaziga.