Judges 21:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakitaabwe ne bannyinaabwe bwe banajja gye tuli okutuyombesa, tunaabagamba nti: ‘Mutusaasire, nabo mumale gabasonyiwa, kubanga tetwabafunira bakazi mu lutalo, nammwe temwazza musango kubanga bawala bammwe temubabawadde buwi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakitaabwe oba bannyinaabwe bwe balyemulugunya gye tuli, tulibagamba nti, ‘Mubatuwe lwa kisa, kubanga tetwabafunira bakazi mu lutalo, era olwokubanga temwababawa, temulina musango.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka bakitaabwe oba baganda baabwe bwe balijja okuwaaba, tulibagamba nti, ‘Mubatuwe lwa kisa kubanga tetwabanyagako mu lutalo okubafuula bakazi baffe, so nammwe temwababawa kubanga mwalibadde muzzizza omusango.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakitaabwe oba bannyinaabwe bwe balijja gye muli okuvunaana, mubagambanga nti: ‘Tubeegayiridde, mubatulekere, kubanga tetwababanyagaako mu lutalo okubafuula bakazi baffe. Ate nga bwe mutaabatuwa, temulina musango gwa kumenya bweyamo bwammwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka bakitaabwe oba baganda baabwe bwe balijja okutuwoleza, ne tubagamba nti Mubatuwe lwa kisa: kubanga tetwabanyagira buli muntu mukazi we mu ntalo: so temwababawa; kaakano mwandizzizza omusango.